Pulezidenti w’e Kenya William Ruto alonze Prof. Abraham Kithure Kindiki, okudda mu bigere bya Rigathi Gachagua.

Mu kiro ekikeeseza lwaleero, Gachagua agobeddwa ‘ Seneti’ ku ky’okumyuka Ruto.

Gachagua

Ennyingo ya 149 mu sseemateeka w’e Kenya, egamba nti Pulezidenti alina ennaku 14 okulonda omumyuka omupya, singa aliko aba agobeddwa, afudde oba alekulidde.

Wabula mu ssaawa bu ssaawa, Ruto abadde amaze okulonda, Kindiki abadde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda, okudda mu bigere bya Gachagua.

Sseemateeka wa Kenya era agamba nti singa Pulezidenti alonda erinnya, Palamenti erina ennaku 60, okakasa erinnya wabula mu kiseera kino, okuteesa ku linnya kugenda mu maaso.

Mu kusooka, Kindiki yali avuganya Gachagua ku ky’okumyuka Ruto wabula Ruto oluvanyuma yalonda Gachagua kuba yali mukwano gwe nnyo.

Gachagua eyakwasibwa obuyinza nga 13, September, 2022 amaze ennaku 766 mu offiisi.

Kindiki, musajja munnamateeka era yamyukako sipiika wa Seneti okuva mu August 2017 – 2020.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GNj4VSjshY8