Kkooti y’amaggye e Makindye olunnaku olwaleero, lw’egenda okuwa ensala yaayo ku kusaba kwa munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Achileo Kivumbi ne Anthony Agaba, amanyikiddwa nga Bobi Young.

Bonna babiri (2) bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu ebigambibwa nti by’amaggye omuli Yunifoomu n’ebintu ebirala.

Kivumbi, nga kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yasaba kkooti okweyimirira, waliwo okutya nti singa ayimbulwa, ayinza okutaataganya okunoonyereza.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Colonel Raphael Mugisha, lugamba nti lufundikidde okunoonyereza era kati betegefu okugenda mu maaso n’omusango.

Munnamateeka wa Kivumbi, Shamim Malende agamba nti tewali nsonga yonna eyinza kulemesa muntu we kuyimbulwa.

Ate ebya Bobi Young, kkooti egamba nti naye alina buli kisanyizo okuva mu kkomera.

Olunnaku olwaleero, kkooti lw’egenda okusalawo okuyimbula Kivumbi ne Agaba oba okusigala mu kkomera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=I6yHl6zLcpw