Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero ebadde ekubirizibwa ssentebe Brig. Gen Freeman Mugabe, esalidde ekibonerezo bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), abakkiriza emisango egy’okusangibwa n’ebintu ebibwatuka 13 n’okulya mu nsi olukwe.

Ku basibe 16, kkooti egambye nti

– Olivia Lutaaya

– Rashid Ssegujja

– Robert Rugumayo

– Muhymdin kakooza

– Simon Kijjambu ne

– Abdul Matovu

– Mesearch Kiwanuka

– Ibrahim Wandera

– Asbert Nagwere

– Steven Musakulu

– Sharif Matovu

– Devis Mafabi

– Livingston Katushabe Kigozi

– Swaibu Katabi

– Stanly Lwanga

– Siraje Obalayi

– Joseph Muganza ne

Paul Muwanguzi

Bonna bagenda kusibwa emyezi 3 n’ennaku 22 oluvanyuma lw’okumala ku limanda emyaka 3 n’emyezi 8.

Kkooti era egambye nti bamaze emyezi 16 nga bagenda mu kkooti okwewozaako, okukiriza emisango ate nga balina abantu ab’okulabirira.

Mungeri y’emu balabuddwa ku nsonga y’okweyambisa ebintu by’amaggye.

Wabula bonna bagamba nti bagenda kujulira.

Bukya bakwatibwa emyaka egisukka 4, ku basibe 32, 19 bakkiriza emisango 9 bagaanye okukiriza emisango.

4 baali bayimbulwa kakalu ka kkooti mu April, 2023.

Oludda oluwaabi lugamba nti abavunaanibwa wakati wa November, 2020 ne 12, May, 2021, mu bitundu omuli Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Nateete ne Kampala Central, basangibwa n’ebintu 13 ebibwatuka, ebirina okusangibwa n’ekitongole ky’amaggye mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga si NUP – https://www.youtube.com/watch?v=AWD1BpKhBkg