Omusajja atabukidde abatuuze olw’okumulemesa okutuuka ku ntikko wakati mu kwesa mpiki.
Benon Mulenga, yakwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omukyala Adritte Nyiramahoho mu kabuyonjo za St. Peter’s Catholic Parish, Gisoro mu Tawuni y’e Kisoro.
Mulenga yakwatiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya.
Poliisi nga yabadde ekulembeddwamu Boaz Arinaitwe, egamba nti kiswaza abantu okudda mu kabuyonjo, ezikozesebwa abantu era essaawa yonna bagenda kutwalibwa mu kkooti.
Mulenga nga mutuuze ku kyalo Gasheregenyi mu ggoombolola y’e Kanaba bagamba nti waliwo munnadiini okuva e Kabale eyabawadde amagezi okugenda okusinda omukwano mu kabuyonjo, okusobola okwejjako ebisiraani.
Ate amyuka RDC we Kisoro Valence Hagumimana agamba nti kati balina olutalo okulwanyisa bannadiini abafere n’okusomesa bannansi okwewala embeera yonna, eyinza okuvaako obuzibu.
Wabula Mulenga bwe yabadde akwatiddwa, yasabye abatuuze okulinda kuba yabadde tannaba kutuuka ku ntikko nga kiyinza okumukosa.
Kigambibwa Malenga ng’ali mu kikolwa ne mukyala we Nyiramahoho, abatuuze basoose kuwulira maloboozi ng’omukyala agamba nti “weewo daddy gutuuse ku kyenda ekito” okutuuka mu kabuyonjo, nga bali mu kaboozi.
Bakwatiddwa kyokka Malenga yagenze ayomba olw’okumulemesa okukuba obulungi ekintu