Eyaliko omuduumizi w’akabinja k’Abayeekera aka Lord’s Resistance Army (LRA), Thomas Kwoyelo kkooti enkulu ewozesa  bakalintalo etudde e Gulu emusalidde ekibonero kya kusibwa emyaka 40.

Ku bbanga erimusaliddwa, ono agenda kusibwako emyaka 25 olw’emyaka 15 gy’amaze mu kkomera egitooleddwa ku kibonerezo ky’emyaka 40. Gyebuvuddeko Thomas Kwoyelo yasingisibwa emisango 44 egiri ku ddaala ly’ensi yonna.

Omugate yali avunaanibwa emisango 75.

Yakwatibwa wakati w’omwezi March ne Septermber, 2009 mu ggwanga lya Congo era abadde mu kkomera.

Egimu ku misango, Kwoyelo yeenyigira mu kutta abantu abantu, okusalwako emimwa, okusobya ku bakyala n’abaana n’emirala wakati wa 1987 ne 2006 nga Kwoyelo yali ne mukama we Joseph Kony, aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Kigambibwa okuyingira obutujju, yawambibwa bwe yali agenda ku ssomero ku myaka 12 era mu nsiko, yali avunaanyizibwa, kujanjaba abafunye ebisago.

Okusibwa emyaka 40, kkooti ebadde ekulembeddwamu omulamuzi Michael Elubu.

Mu kkooti, omulamuzi Duncan Gasagwa naye agambye nti Thomas Kwoyelo yakulemberamu okukola ebintu eby’enjawulo omuli n’okupaanga entekateeka zonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_L_ceMFyXE&t=506s