Poliisi y’e Kabale eri mu kunoonya omuwagizi wa Arsenal ali myaka 30 ku misango gy’okutta omuwagizi wa Maniyu.

Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, mu katawuni k’e Kyobugombe mu ggoombolola y’e Kaharo e Kabale, omuwagizi wa Maniyu kati omugenzi Benjamin Okello, yakyokooza omuwagizi wa Arsenal, Liverpool bwe yakuba Arsenal, ggoolo ey’okubiri mu Premier League.

Omugenzi Okello ne Onan, nga bonna batuuze ku kyalo Katenga, bagenda mu kibanda okulaba omupiira wakati mu kusakaanya.

Kigambibwa Mohamed Salah omusambi wa Liverpool okuteega ggoolo 2, Okello yakuba ennyo enduulu okusanikira ekibanda, nakasukira Onan ezimu ku mbereege zeyali alyako.

Okusinzira ku ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Kaharo, Edmond Tumwesigye, omupiira nga guwedde ggoolo 2-2, Okello yalumba Onan era olw’obusungu, Onan yakuba Okello omuggo ku mutwe ne bamuddusa mu ddwaaliro e Rugarama era yafa nga bakamutusaayo.

Mu kiseera kino, Onan aliira ku nsiko era addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Joseph Bakaleke agumizza abatuuze ku nsonga y’okunoonya Onan, ku misango gy’okutta Okello.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VtRQ59MZMDo&t=28s