Aba kampuni ya Sumz abakola eby’okulya enj’enjawulo omuli Daddies, Crisps okuva mu ggonja, obumonde, abakola Cookies ssaako n’ebintu ebirala bingi nnyo, baduukiridde abalwadde mu ddwaaliro e Kiruddu, Makindye n’ebintu eby’enjawulo.

Balwadde abali mu 100, baweereddwa eby’okulya omuli Sukaali, sabuuni, emigaati, Baketi ez’enjawulo, Pampa, ekiwadde abalwadde ssaako n’abajanjabi essanyu n’essuubi nti tebali bokka mu ddwaaliro gye bali.

Abaweereddwa ebintu, batendereza omutima omulungi, aba Sumz gwe balina eri bannayuganda.

Abamu ku balwadde abafunye ku bintu mwe muli abalina endwadde omuli Kkansa, abalina endwadde mu lubuto, abali okufuna obujanjabi bw’omuliro omuli n’abo abagiddwa e Kigoogwa e Kasangati wiiki ewedde, olw’ekimotoka ky’amafuta okugwa.

Abamu ku balwadde bagamba nti okufuna ebintu nga sukaali, eby’okulya bya Sumz, kigenda kubanguiyiza okutambuza obulamu bw’eddwaaliro.

Ate aba Sumz nga bakulembeddwamu Geoffrey Sserunkuma, bagamba nti kikoleddwa okuddiza ku bantu, olwa Bannayuganda abasukkiridde okulya ebintu byabwe ssaako n’okubawagira.

Serunkuma agamba nti batandika butandisi, bakweyongera okutambula mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuddiza ku bantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=020PrEAQ-Rs