Eyali ssenkulu w’ekitongole ki KCCA Doroth Kisaka, eyali omumyuka we David Luyimbazi n’eyali akulira eby’obulamu Daniel Okello, bayimbuddwa kakalu ka kkooti.
Bano, baakwatibwa oluvanyuma lw’enjega eyagwa e Kiteezi nga 10, August, 2024, omwafiira abantu abasukka 35, era babadde ku limanda ku kkomera e Luzira okuva 18, October, 2024.
Mu kkooti, baggulwako emisango gy’okuviirako abantu okufa olw’obulagajjavu wakati wa July, 2020 – August, 10, 2024 wadde Kisakka yayingira offiisi nga 23, July, 2020.
Kisaka, Luyimbazi ne Okello, bayimbuddwa ku ssente obukadde 5 ez’obuliwo buli omu ate ababeyimiridde obukadde 100 ezitali za buliwo.
Mu kkooti e Kasangati ebadde ekubirizibwa omulamuzi Beatrice Kainza, bonna 3 balagiddwa okuwaayo Paasipooti zaabwe nga balina okusaba kkooti olukusa bwe kiba betaaga okugenda ebweru w’eggwanga.
Olw’okuba oludda oluwaabi lukyanoonyereza, y’emu ku nsonga lwaki bayimbuddwa era balagiddwa okudda mu kkooti nga 26, November, 2024.
Oluvanyuma lw’okuyimbulwa, wabaddewo okusagambiza ebweru wa kkooti, eri abantu abazze nga bayambadde obusaati obweru nga bagamba nti olwa Kisaka y’emu ku nsonga lwaki Kampala efaanana bulungi.
Bano, bagamba nti emirembe egiri mu Kampala, Kisaka yekka yasobola Kampala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uoxZCIHoGOU