Poliisi evuddeyo ku mukyala eyakwatiddwa ku by’okutulugunya omwana omuto n’okumuliisa empitambi.
Omukazi yalabikidde mu katambi akasaasanidde ku mikutu gya Social Media ngasiiga omwana empitambi kko n’okugimuliisa, Poliisi egamba nti balina binyi nnyo eby’okunoonyereza.
Omukwate ye Stella Namwanje nga mutuuze ku kyalo Binyonyi A mu Nyendo e Masaka era nga omwana gwe yakikoze wa mukwano gwe era muliraanwa we.
Yakwatiddwa Poliisi e Masaka era tekimanyiddwa oba omukyala ono, aludde ng’akola ebikolwa ebyo.
Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti betaaga okuzuula, ekigendererwa ky’omukyala ono.
Agamba nti wadde yakola ebintu bingi, omukyala Namwanje aguddwako emisango gy’okutulugunya omwana era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Okunoonyereza kulaga nti maama w’omwana Oliver Mbabazi, alaga nti Namwanje abadde ayagala nnyo omwana we era yabadde asinga okusigaza omwana we.
Agamba nti omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi, okumutangira okufuna ebirwadde.
Ate ku Poliisi, omukyala Namwanje asabye Poliisi okunoonyereza kuba naye tamanyi lwaki yawadde omwana empitambi kuba omutwe gukola bulungi ddala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DVXtPO6XifY