Enkumbi ya Hajat Zuula etabudde abantu

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Isaac Muwata, alangiridde nga 18, November, 2024, okuddamu okuwuliriza okusaba kwa Hajji Ali Mwizerwa.

Hajji Ali ku misango gy’okusobya ku mwana we, muggya na nnyina myaka 14.

Wiiki ewedde, yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga 13, November, 2024, bwe yasimbiddwa mu kkooti esookerwako e Kajjansi nga kivudde ku ludda oluwaabi okusaba obudde okunoonyereza.

Enkya ya leero, Hajji bw’asibidde mu kkooti enkulu mu Kampala, omulamuzi alagidde enjuyi zonna okusaayo okusaba mu buwandiike n’oludda oluwaabi, okwanukula mu buwandiike, kyanguye ensonga, okutambula amangu.

Singa balemwa okukaanya, omulamuzi Muwata asuubiza okuvaayo okusala eggoye ku nsonga ezo.

Wabula abamu ku bazze mu kkooti n’okutuusa kati bakyebuuza ebigambo by’omukyala Nakisuyi Zuula nti yazudde enkumbi, omwana gye yakozesa era gye yatutte eri Minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Barugahara.

Abakyala, bagamba nti enkumbi ekozesebwa omukyala yenna nga anyumiddwa emikolo, omwana ku myaka 14, enkumbi, yagitegeera ddi?

Ebikwata ku nkumbi mu kkooti – https://www.youtube.com/watch?v=x7KXSwA9tnQ