Poliisi e Kiboga ekutte Rev. Luyimbazi George William okuva ku All saints church Kiboga ku misango gy’okusobya ku bawala abato ssaako n’okwata abakyala.

Rev. Luyimbazi era nga ye Principal wa Bamusuta  Vocational institute e Bamusuta cell mu Tawuni Kanso y’e Kiboga mu disitulikiti y’e Kiboga, yakwatiddwa.

Rev. Luyimbazi, abadde asobya ku bakyala n’abawala wakati w’emyaka 16 – 18 era Poliisi, yakafuna sitetimenti, okuva mu bantu 4.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi e Kiboga, Racheal Kawala, Rev. Luyimbazi abadde asobya ku bakyala n’abawala mu makaage agali ku kkanisa ya All saints church Kiboga ne ssomero lya Bamusuta vocational Institute Kiboga.

Poliisi egamba nti abaana abawala bakebeddwa abasawo era kizuuliddwa nti omu ku baana yafunye olubuto.

Luyimbazi awonye emiggo gy’abatuuze n’okusingira ddala abazadde babaana era mu kiseera kino akuumibwa ku Poliisi e Kiboga.

Poliisi egamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso okuzuula oba waliwo abakyala oba abawala, abaludde nga bakozesebwa Luyimbazi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XATTngdD0jw