Stella Namwanje omukazi eyalabikira mu katambi akasaasaanira emikutu gya social media omuli WahatsApp ng’asiiga n’okuliisa omwana myezi 10 empitambi, akaligiddwa emyaka 35 mu nkomyo.

Namwanje alabiseeko mu kkooti era nakkiriza omusango ogwamuggulwako ogw’okutulugunya omwana mu ngeri esingayo obubi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu George Kalinaki, nga 4, November, 2024, Namwanje nga mutuuze ku kyalo Binyonyi A, Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka, yatulugunya omwana n’ebikolwa ebiswaza omuli okumuliisa empitambi ssaako n’okumunywesa omusulo.

Omwana wadde yasobodde okufuna obujanjabi, kyazuuliddwa nti yabadde alina ebiwundu ku liiso, ekiraga nti yatulugunyizibwa nnyo.

Namwanje yakebeddwa era kyazuuliddwa nti mulwadde wa siriimu.

Mu kkooti, Namwanje yakkiriza emisango era y’emu ku nsonga lwaki yasabye ekibonerezo ekisamusaamu.

Wabula omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Aloysius Natwijuka, agamba nti abantu nga Namwanje balina okuva mu bantu olw’ebikolwa bye, ebimenya amateeka.

Wadde yabadde ayinza okusiba Namwanje amayisa, omulamuzi yamusibye emyaka 35 okusobola okukyuka ng’omuntu.

Abatuuze b’e Nyendo, Namwanje gy’abadde awangaalira bagamba nti ekibonerezo kino kitono nnyo bwogeraageranye n’ebyambyono ono bye yakola ku mwana omuto atalina musango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hwmAag_HfpQ