Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto mu Kampala ku ‘Container Village’ era abasukka 30 bakwatiddwa.
Poliisi egamba nti abantu abakyamu baludde nga basinzira mu kifo ekyo, okutigomya abasuubuzi mu Kampala.
Baludde nga banyakula essimu z’abantu, ensawo z’abakyala, okusala ensawo, okumenya amaduuka era bangi baludde nga banoonyezebwa.
Bangi ku babiddwa, basangibwa ku Clock Tower.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, nga tugenda mu nnaku nkulu, ababbi beyongera obungi era kati bakola kyonna ekisoboka bonna okukwatibwa.
Onyango agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso.