Abatuuze b’e Kyotera basobodde okuzuula emmundu, egambibwa nti ebadde ekozesebwa, okubatigomya abantu.
Emmundu ezuuliddwa ku kyalo Kibutamo mu ggoombolola y’e Lwankoni, kigambibwa yebadde esinga okweyambisa abakwate nga bakulembeddwamu Mwanje Gerald, abaakwatibwa mu September 2024.
Mwanje ne banne baakwatibwa ku misango gy’okubba abasuubuzi, okuteega abantu mu kkubo era bagenda okubakwata nga ssente basobodde okuzeyambisa okuzimba amayumba, okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi ssaako n’okusigula bakabasajja.
Emmundu erabiddwa abatuuze 2 mu kibira kya Kalituunsi nga yateekebwa mu sweta emyufu.
Emmundu oluzuuliddwa, abavubuka basobodde okutemya ku bakulembeze era amangu ddala Poliisi eyitiddwa.
Addumira Poliisi mu Kyotera Justus Namara, atendereza abatuuze okuyambagana mu kulwanyisa ebikolobero.
Okunoonyereza kutandiise wabula kizuuliddwa nti emmundu ya kitongole kya Uganda Peoples’ Defence Forces (UPDF).
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-RkRjSBHnsk