Kkooti esookerwako e e Kajjansi, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Karungi Doreen Olga asindise mu kkooti enkulu, Hajji Ali Mwizerwa, okulinda okwewozaako.
Hajji Ali nga mutuuze ku kyalo Bweya, Kajjansi, yakwatibwa olwa mukyala we Nakisuyi Zuula, okuvaayo mu lwatu ng’ali maziga, ng’amulumiriza okusobya ku mwana we, muggya na nnyina myaka 14 ng’ali mu S 2.
Mu kkooti, oludda oluwaabi lukomekereza okunoonyereza era bwatyo, Hajji Ali, asindikiddwa mu kkooti enkulu, wakati mu kkooti ebadde ekubyeko namungi w’omuntu.
Obujjulizi bulaga nti
– Omwana yamusobyako emirundi egiwera wakati wa May – September, 2024
– Hajji Ali yasuubiza okutta omwana singa ategezaako omuntu yenna
– Omwana yekebejjebwa abasawo nga 1, October, 2024 ne bazuula nti yasobezebwako
– Nga 2, October, 2024, Hajji Ali yakeberebwa abasawo ne bazuula nti mulamu nga ne bwongo, tekuli buzibu bwonna.
Mu kkooti enkulu, bagenda kwesigama nnyo
– Ebbaluwa y’abasawo eraga nti kituufu omwana yasobezebwako
– Ebbaluwa y’obuzaale, eraga emyaka gy’omwana
– Maapu y’ekisenge, Hajji Ali gye yali agenda okusobya ku mwana
– Ebifaananyi by’ekisenge
– Abaluwa y’abasawo eyava mu kwekebejja Hajji Ali
– N’ebiwandiiko byonna, kkooti byeyinza okusaba.
Mu kiseera kino, Hajji Ali asindikiddwa ku limanda okutuusa kkooti enkulu lwerimuyita, okutandiika okuwuliriza emisango gye.
Wabula Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Isaac Muwata wakuddamu nga 18, November, 2024, okuwuliriza okusaba kwa Hajji Ali okweyimirirwa.
Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=pU43q-o2dK8