Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Ntebe, Stella Amabilisi asindise mu kkomera omuvubuka Emmanuel Nabugodi, okumala ebbanga lya myaka 2 n’emyezi 8.

Nabugodi myaka 21 yasingisiddwa emisango gy’okweyambisa omutimbagano omuli Tik Tok, okutyoboola, okuvuma, okuwemula, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’ggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Paul Byamukama lugamba nti Nabugodi yazza emisango mu September, 2024 mu disitulikiti y’e Wakiso oluvanyuma yaddukira mu bitundu bye Mbale, gye bamukwatira.

Nabugodi, yabadde wakusibwa emyaka egiri 7 wabula omulamuzi Amabilisi yamusaasidde, kuba akyali mulenzi muto, yakkiriza emisango, yakaabira mu kkooti nti yali anoonya bagoberezi ku Tik Tok, nga y’emu ku nsonga lwaki yamusibye emyaka 2 n’emyezi 8.

Mu kkooti, Nabugodi yabadde alemeddeko wakiri okuwa engasi, okusinga okusibwa emyaka 2 n’emyezi 8 wabula omulamuzi, yagaanye nti alina okumuggya mu bantu, asobole okudda ng’ateredde bulungi ddala.

Bwatyo, yasindikiddwa mu kkomera e Kigo wakati mu kukuluma.

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bkNlSSzPSoA