Agava mu ggwanga erya Tanzania, galaga nti Zuchu yasuddewo obufumbo bw’omuyimbi Diamond Platnumz.
Platnumz abadde mu laavu ne Zuchu okumala ebbanga erigenda mu myaka 3 era ensonga z’omukwano zibadde zitambula bulungi.
Wabula mukwano gwa Zuchu agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye wadde Zuchu abadde ayagala nnyo Platnumz, yakooye ejjoogo.
Agamba nti Platnumz wadde alina omukyala, abadde asukkiridde okwagala abawala ab’enjawulo omuli n’abo abali mu vidiyo ze ez’enjawulo.
Zuchu era agamba nti bba abadde tamuwa kitiibwa, ng’omukyala ate nga y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuva mu makaage.
Zuchu naye mukyala muyimbi era agamba nti alina okufuna omusajja ategeera nti abakyala balina okuweebwa ekitiibwa mu mbeera yonna.
Nga 12, November, 2024, Zuchu yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okutegeeza ensi, nti eby’okwagala Platnumz biweddewo era yagambye nti “After three years of dating, Nasib (Diamond Platnumz) and I have Positively decided to call it quits”.
Zuchu wadde yasuddewo Platnumz, agamba nti enkolagana wakati waabwe, ekyagenda mu maaso.
Platnumz wadde y’omu ku bayimbi abakwatiridde Africa mu kisaawe ky’okuyimba, eby’omukwano, bambi alina obuzibu kuba akyalemeddwa okufuna omukyala nga buli gwafuna, alina okudduka omuli

  • Zari Hassan
  • Hamisa Mobetto
  • Tanasha Donna n’abalala.

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bkNlSSzPSoA