Rtd Dr Col. Kizza Besigye myaka 68 ne munne Hajji Obedi Lutale Kamulegeya myaka 65 , omutuuze we Mutundwe, Makindye-Ssabagabo mu Wakiso, baguddwako emisango 4 wali mu kkooti y’amaggye e Makindye.
Mu kkooti y’amaggye e Makindye ebadde ekubirizibwa ssentebe Brigadier General Robert Freeman Mugabe, Besigye ne Lutale, baguddwako emisango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa by’amaggye ssaako n’okutuuza enkiko okunoonya ssente okutaataganya ebyokwerinda.
Okunoonyereza kulaga nti
– Wakati wa October, 2023 ne November, 2024 nga bali mu bibuga okuli
1 – Towitt, Geneva Switzerland
2 – Athens, Greece
3 – Nairobi, Kenya, batuuza enkiiko ez’enjawulo, okunoonya ssente okutaataganya ebyokwerinda by’eggwanga.
Mungeri y’emu basangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Okunoonyereza era kulaga nga 16, November, 2024 ku Riverside Apartments e Kenya mu kibuga Nairobi, basangibwa n’emmundu ekika kya Pisito, Model 27KAL 765.
Ku lunnaku lwe lumu, mu kifo kye kimu, basangibwa n’emmundu endala ekika kya Pisito HB 10141953 n’ebyokulwanyisa ebirala.
Omulamuzi, olubasomedde emisango, gyonna bagyegaanye era Besigye asindikiddwa ku Limanda e Luzira okutuusa nga 2, December, 2024 ne munne Lutale.
Mu kusooka, babadde bawakanyiza eby’okutwalibwa mu kkooti y’amaggye, wabula kkooti egobye okusaba kwabwe.
Ensonga za Besigye okukwatibwa, zikedde kutambula ku mikutu migata abantu oluvanyuma lwa mukyala we Winnie Byanyima okweyambisa omukutu ogwa X okutegeeza ensi.
Byanyima agamba nti Besigye yakwatiddwa mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi ku Lwomukaaga, gye yabadde agenze okwetaba ku mikolo gy’okutongoza ekitabo ekyawandikiddwa omukyala Martha Karua.
Martha Karua y’omu ku bakulembeze ku ludda oluvuganya Gavumenti mu ggwanga lya Kenya.
Byanyima naye alemeddeko, asigadde yebuuza lwaki bba Besigye atwalibwa mu kkooti y’amaggye nga si munnamaggye.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa Besigye ne Lutale, omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti kiswaza Gavumenti okuleeta ebintu bye kigwagwa mu kkooti.
Omuloodi Lukwago, alemeddeko nti kkooti y’amaggye terina buyinza okulondoola abantu abali mu nsi endala.
Lukwago era asabye Gavumenti e Kenya okuvaayo okutegeeza eggwanga, Besigye ne Lutale bakwatiddwa batya mu Kenya okutuusa okudda mu Uganda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=z8K5zHn9WbE