Omuyimbi Patrick Mulwana amanyikiddwa nga Alien Skin, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.
Okusinzira kya kiwandiiko, okuteekeddwa omukono gwa D/SP Herbert Rigyendo, Aline Skin aguddwako emisango gy’obubbi.
Mu kkooti e Makindye mu maaso g’omulamuzi Esther Adikini, emisango gyonna agyegaanye.
Kkooti egamba nti Alien Skin, nga 28, September, 2024 ng’ali e Makindye, Kampala yeenyigira mu kubba.
Yabba essimu ya Mubiru Salim ekika kya Iphone 15 PRO nga yali ya Bulaaka nga yali ebalibwamu shs 3.5M, yabba ssente 480,000 ne Wallet omwali National ID n’ebirala.
Asindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 9, December, 2024.
Mu kkooti abadde asabye okweyimirirwa wabula obudde bubadde bugenze.
Omulamuzi Adikini amulagidde nti asobola okusaba okuleetebwa mu kkooti, essaawa yonna, okuddamu okusaba okweyimirirwa.
Okukwatibwa era abadde anoonyezebwa Poliisi y’e Katwe ne Kabalagala ku byagudde ku ddwaaliro e Nsambya, omusawo bwe yakubiddwa ssaako ne Basikaali 2.
Omusawo Dr. Matovu Zaidi yakubiddwa ne Basikaali Muyanda Anthony ne Odongo Alex, wali ku ddwaaliro e Nsambya, mu kiro ekikeeseza olwaleero.
Okunoonyereza kulaga nti waliwo abantu 6 abaatutte Tumwesigye Joram myaka 28 ng’ali mu mbeera mbi, nga kiraga nti yabadde atomeddwa.
Nga wayise essaawa emu, abasawo baasobodde okubategeeza nti Tumwesigye yabadde amaze okufa, ekintu ekyabatabudde.
Okunoonyereza era kulaga nti abazze nga bali 6, beyongedde obungi ne basaba ‘Doctor’ ebbaluwa y’omusawo ku muntu waabwe eyabadde afudde, wabula ‘Doctor’ bwe yaluddewo ne bamukubirawo ssaako ne Basikaali.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=6s