Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto, ekutte abasukka 60 ku misango gy’okusangibwa n’enjaga, okubba abatuuze n’abasuubuzi ssaako n’okusangibwa n’ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kumenya amayumba.
Mu bitundu bye Kitintale, Portbell, Luzira, Kifuufu n’ebitundu bye Gulf, Poliisi ekutte abantu 19.
Mu ggoombolola y’e Kira, bakutte 30, ate mu disitulikiti y’e Mukono, Poliisi ekutte 47 nga batwaliddwa ku Poliisi y’e Seeta ne Mukono.
Ate ku CPS mu Kampala, abasirikale bakutte 20.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti nga tugenda mu nnaku enkulu, Poliisi erina okukola ebikwekweeto, okunoonya abantu bonna, abayinza okutaataganya ebyokwerinda n’okulemesa abantu okutambuza obulungi emirimu gyabwe – https://www.youtube.com/watch?v=zVFnuKRe2KM