Omulamuzi kkooti enkulu mu Kampala mu kkooti erwanyisa obuli bw’enguzi Jane Kajuga, ategezeza nti omubaka w’e Ntenjeru North era Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga lino Amos Lugoloobi bw’alina emisango gy’okuddamu.
Minisita Lugoloobi, yaggulwako emisango 2 omuli okusangibwa n’amabaati amabbe 400 ng’emisango yagiza wakati wa 14 – 28, Febwali, 2023 wabula emisango gyonna yagyegaanye.
Mu Gwokuna, 2023, omulamuzi Albert Asiimwe yamuyimbula kakalu ka kkooti ssente obukadde 10 ez’obuliwo.
Wabula bannamateeka ba Minisita Lugoloobi okuli
John Isabirye
Ritah Asiimwe
Tony Tumukunde
Alex Luganda, baddukira dda mu kkooti nga basaba, Minisita agibweko emisango kuba Gavumenti, eremeddwa okuleeta obujjulizi.
Wabula omulamuzi Kajuga, bw’abadde awa ensala ye, agamba nti obujjulizi obuliwo, bulaga nti Minisita Lugoloobi alina omusango ng’alina okwewozaako engeri gye yafuna amabaati g’e Karamoja era ateekeddwa okwewozaako newankubadde mu kkooti, Minisita tabaddewo, akiikiriddwa bannamateeka be nga bakulembeddwamu John Isabirye.
Omulamuzi alangiridde nga 15 ne 18, January, 2025, Minisita Lubologo okuba mu kkooti mu buntu, okutandiika okwewozaako.
Mungeri y’emu omulamuzi alagidde nti Minisita Logolobi bw’aba agenda kutambula, alina okuwandikira kkooti mu butongole, si kweyambisa bigambo bya bannamateeka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=z8K5zHn9WbE