Kkooti y’amagye e Makindye ezzizzaayo Dr Kizza Besigye ne Obeid Lutale ku alimanda e Luzira okutuusa nga 10, December, 2024.

Kkooti okwongezaayo, kiddirirdde munnamateeka wabwe omukulu Martha Karua okulemererwa okufuna ebiwandiiko ebimukkirizza okukolera mu Uganda obwa looya bwe.

Oludda oluwawaabirwa lwabadde lusuubirwa kkooti okuddamu olwaleero ku Lwokubiri nga Karua amazeeyo emitendera gyonna egimuweesa ebiwandiiko wabula ssentebe kino yakigaanye nti kubanga balina emisango emirala egy’okukolako ng’oggyeko ogwa Besigye ne munne.

Bwatyo, yabalagidde okudda mu kkooti nga 10, December, 2024.

Besigye ne Lutale bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu ekika kya Pisito, amasasi ssaako n’okuteesa okutataaganya ebyokwerinda by’eggwanga.

Wabula munnamateeka Karua agamba nti kimenya mateeka Besigye ne Lutale okukwatibwa mu ggwanga lya Kenya, okubakomyawo mu Uganda.

Karua agamba nti Besigye bw’aba alina emisango, yali alina kutwalibwa mu kkooti e Kenya.

Muzeeyi Kiwanuka John Chrisestom 82, yesowoddeyo okubeera omu ku bantu abagenda okweyimirira Besigye.

Wadde bannamateeka ba Besigye balemeddeko, bagamba nti omuntu waabwe talina musango era bagamba nti talina kutwalibwa mu kkooti y’amaggye, balinze kusalawo kwa kkooti.
Singa kkooti egamba nti Besigye alina emisango era alina okwewozaako mu kkooti y’amaggye, ate balina kusaba kweyimirirwa.
Mu kiseera kino, kkooti ziri mu kwetekateeka okugenda mu luwumula era singa tewaba kusaba kwamangu, Besigye ne Lutale, bayinza okuyingira omwaka gwa 2025 nga bali mu kkomera e Luzira.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GJbgDG062TM