Poliisi y’e Mityana eri mu kunoonya abatemu, abasse omuntu ssaako n’okubba ebintu.
Abazigu mu kiro ekyakesezza olw’eggulo bamenye edduuka ne batta omuvubuka abadde alisulamu era ne bakuuliita n’ebyamaguzi eby’enjawulo ku kyalo Busimbi mu Munisipaali y’e Mityana.
Omwana Nathan Kakooza myaka 14 abadde mu S1 ku Mityana Town Secondary School yattiddwa mu bukambwe.
Nannyini dduuka David Ssenyanzi, mukulu w’omugenzi Kakooza agamba nti oluvanyuma lw’okutta Kakooza, ebintu ebyatwaliddwa kuliko ensawo za sukaali 2, omuceere n’ebintu ebirala.
Okuyingira edduuka, abatemu basobodde okusima ekituli ku Lwokubiri ekiro.
Ssenyanzi agamba nti gubadde mulundi gwakusatu okulumba okumenya edduuka mu bbanga lya mwezi gumu kyokka tewali yali akwatiddwa.
Meeya wa Mityana Central Fred Wotonava asabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula abatemu ssaako n’okunyweza ebyokwerinda ddala mu kiseera kino eky’ennaku enkulu ezikubye kkoodi.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala agumizza abatuuze ku byokwerinda era agamba nti bagenda kunoonyereza okutuusa nga bazudde abatemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LajCJkmgLnk