Poliisi e Kasangati mu Kampala ekoze ekikwekweeto mu Tawuni Kanso y’e Kasangati, mu disitulikiti y’e  Wakiso mwekwatidde Makanika Kagenda Joshua omutuuze w’e Mpelerwe, agambibwa okulemberamu okukyusa emmotoka ezibiddwa mu Kampala n’emirirwano.

Kagenda Joshua

Mu kikwekweeto,  Galagi y’omugagga Byekwaso Martin ezingiddwako era musangiddwamu emmotoka 6, ennamba ez’enjawulo 16, ezigambibwa okuba enzibe.

Ezimu ku mmotoka kuliko

UBH 145F Toyota wish, nga kigambibwa yabiddwa okuva e Kiruddu

UAV 370G Toyota Noah, nga yabiddwa okuva e Nateete

– UAL 630A mark 2 nga Njeru, yabiddwa Kampala mukadde.

Emmotoka endala kuliko

– UAX 793E Toyota Noah ssaako n’ezo ezatemeddwako ennamba okuli Toyota “kibina” nga njeru, Toyota fielder nga nzirugavu n’endala. Okusinzira ku Poliisi, nannyini Galagi Byekwaso Martin yadduse aliira ku nsiko wabula anoonyezebwa ku misango gy’okubba emmotoka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE