Nasser Nduhukire, eyali amanyikiddwa ennyo mu kulya ssente mu Kampala nga Don Nasser, kkooti ekiriza okusaba kwe, okweyimirirwa.

Don Nasser myaka 38 nga mutuuze mu zzoni ya Kito mu disitulikiti y’e Wakiso, ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuwala myaka 16 ssaako n’okumukukusa.

Omuwala eyavaako obuzibu,  yamugya ku Tagore apartments e Kamwokya, namutwala makaage mu zzooni ya Kito e Kira era yamusobyako okumala ennaku 4, okuva nga 23 okutuusa nga 27, May, 2024.

Wadde mu kkooti ku Buganda Road yegaanye emisango gyonna, bwe yali akwatiddwa ne mukwano gwe Ateete Promise, nga 25, November, 2024, yasindikiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala, okwewozaako.

Wabula kkooti enkulu emuyimbudde ku ssente obukadde 3 ez’obuliwo.

Ate abamweyimiridde, obukadde 50 buli omu ezatali za buliwo. Alagiddwa okuwaayo paasipooti, nga talina kutambula okuva mu Uganda, okugyako ng’afunye olukusa lwa kkooti, era alagiddwa okweyanjula mu kkooti omulundi gumu buli mwezi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE