Poliisi n’amaggye bakedde kuzingako One Love Beach Busabala e Ssabagabo-Makindye eya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Olunnaku olw’eggulo, nga pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Kyagulanyi yasobodde okusisinkana abaana b’abantu abazze battibwa, abali makkomera ssaako n’abo ababuzibawo.
Kyagulanyi, okusisinkana bannakibiina akikola buli mwaka n’okusingira mu mwezi gwa December.
Olunnaku olwaleero, abadde alina okusisinkana ba ‘Foot Soldiers’ ku One Love Beach, wabula Poliisi n’amaggye bakedde kusalako era abamu ku bakozi bakubiddwamu ttiiyaggaasi.
Kigambibwa abamu ku bakozi bakubiddwa era Poliisi eriko bekutte ssaako n’abamu ku batuuze ku kyalo.
Kyagulanyi agamba nti kyewunyisa nti abantu abalina okutambulira mu mateeka ate basukkiridde okumenya amateeka.
Ate Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis Rubongoya avumiridde ekikoleddwa, okulemesa NUP okukola emirimu gy’ekibiina.
Agamba nti Kyagulanyi talina musango gwonna, okuyita okusisinkana abantu be, abalowooza nti Uganda yetaaga enkyukakyuka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE