Kkooti enkulu e Kisoro eriko abavubuka 2 abasindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 2 lw’okutta omuntu aliko obulemu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Michael Dusabe, 32 ne Richard Nsabimana 30 nga batuuze ku kyalo Gasovu e Karambi mu ggombolola y’e Nyarusiza e Kisoro batta Joram Kwizera myaka 28 nga naye yali mutuuze ku kyalo Gasova.
Kwizera yattibwa nga 16, June, 2022 nga yaliko obulemu nga tawulira.
Kigambibwa Kwizera yakubwa ekintu ku mutwe era oluvanyuma yatwalibwa mu ddwaaliro lya St. Francis Mutorele okufuna obujanjabi ng’ali mu mbeera mbi.
Ng’ali mu ddwaaliro, yasobola okuwandiika amannya g’abantu abamukubye ekintu ku mutwe era oluvanyuma yafa.
Omulamuzi Samuel Emkor, owa kkooti enkulu e Kabale bwe yabadde awa ensala ye, yagambye nti tewali kubusabuusa kwonna, bafunye obujjulizi obulaga nti Dusabe ne Nsabimana batta Kwizera.
Omulamuzi yasobodde okweyambisa obujjulizi okubasiba emyaka 25, okutangira abantu abalala n’okusingira ddala abavubuka, okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=11s