Poliisi e Kakira ekutte Michael Acidri amanyikiddwa nga Azabo owa bodaboda ku misango gy’okusobya ku mukyala omusaabaze myaka 25.
Mu sitetimenti ku Poliisi, omukyala (amannya gasirikiddwa) agamba nti yabadde avudde mu Tawuni Kanso y’e Magamaga okugenda e Bugembe mu kibuga Jinja, kwe kulinya owa bodaboda Acidri ku ssente shs 3,000.
Omukyala agamba nti nga batuuse ku nkulungo y’e Kakira, owa bodaboda yavudde ku luguudo, okudda mu kakubo akatono era omukyala agamba nti yeekengedde embeera era amangu ddala yakubye enduulu, okufuna obuyambi.
Yavudde mu mbeera era amangu ddala Acidri yakubye Pikipiki ekiggwo era yakutte omukyala namutwala mu nsiko.
Poliisi okutuuka ssaako n’abakuumi okuva mu Kampuni ya Madhvani, Acidri yasangiddwa lubona ng’asobya ku mukyala.
Mu kiseera kino Acidri akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Kakira ku misango gy’okusobya ku mukyala.
Ate omukyala atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi n’okwongera okumwekebejja.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira-Jinja, agamba nti ne Pikipiki ya Acidri namba UFC 998E etwaliddwa ku Poliisi y’e Kakira.
Mubi agamba nti okunoonyereza kuli mu ggiya nnene era essawa yonna, Acidri bamutwala mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=y_NMMFgjy2Y