Kizuliddwa nti Uganda egenda kufiiwa obuwumbi bwa ssente 316 n’obukadde 600 mu ddaggala eriyiseeko ennaku.

Eddagala lyagulibwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2023-2024 naye teryakozesebwa okuli

– Eriweweeza obulwadde bwa Mukenenya

– Erigema Covid 19

– Obuuma obukebera Mukenenya n’ebika ebirala.

Bino bibadde mw’alipoota, Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti Edward Akol, gy’akwasizza amyuka sipiika Thomas Tayebwa ku bwa sipiika Anita Among wali ku Palamenti y’eggwanga.

Edward Akol ne Thomas Tayebwa

Kinnajjukirwa alipoota y’omwaka 2022-2023, Uganda yayokya eddagala lya Biriyoni 33 kyokka ku mulundi guno, ssente zeyongedde nnyo.

Alipoota eraga nti Uganda okufiirwa ssente bw’ezityo, obunafu busiinze kuva ku kitongole ekivunaanyizibwa okutereka eddagala n’okulitambuza ekya National Medical Stores, ekirwawo okutwala eddagala mu malwaliro.

Mungeri y’emu bagamba nti amalwaliro gegumbulidde okusaba ssente ne bagula ebyuma naye nga tebalina basawo abalina obukugu okubyeyambisa, ekivaako ebyuma okufa mu bwangu.

Bw’abadde awaayo alipoota, Akol alaze okutya nti ensimbi gavumenti zesaasaanyiza ku busiimo bw’abakozi baayo abannyuse emirimu zandyekubisaamu singa amateeka ku by’okuwummula emirimu gya gavumenti tegakyusibwa.

Agamba nti ssente zeyongedde nga kiyinza okuba ekizibu eri Gavumenti okusasaanya ssente eri abakozi abeyongera okuwumula emirimu.

Alipoota eraga nti ssente ezibanjibwa Gavumenti ebweru w’eggwanga zeyongedde ebitundu 2.2 ku 100 okuva ku Tuliyooni 53.19  okudda ku Tuliyooni 54.37.

Bingi ebiri mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=itIJVpnwNkg