Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekibiina era Mathius Mpuuga, omubaka wa Nyendo-Mukungwe, kati asigadde yekwata ku bisubi.

Mu nkyukakyuka ezikoleddwa

– Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi, alondeddwa okudda mu bigere bya Mathias Mpuuga, okumyuka Pulezidenti wa NUP Bobi Wine mu Buganda.

Benjamin Katana, alondeddwa okumyuka ssentebe w’kibiina ekitaba ebibiina by’obufuzi mu ggwanga ekya National Consultative Forum, okudda mu bigere b’omugenzi Maama Jolly Mugisha.

Jolly Jackline Tukamushaba alondeddwa, okudda mu bigere by’omugenzi Maama Jolly Mugisha, okumyuka Kyagulanyi mu bugwanjuba bwa Uganda.

Abalala abalondeddwa kuliko

Julius Maganda alondeddwa ng’omuwandiisi w’abantu abaliko obulemu

Harriet Ageno alondeddwa ng’omuwandiisi w’enkola z’ekibiina okudda mu bigere by’omugenzi Simon Toolit

Rev. Dr. Ben alondeddwa okudda mu bigere by’omugenzi Mzee Byarugaba William ng’omuwandiisi ku nsonga z’abakadde

– Ate Bwambale Geoffrey alondeddwa okumyuka omuwandiisi w’ensonga z’abavubuka mu bugwanjuba bwa Uganda, okudda mu bigere bya Aguuda Moses.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, bonna abalondeddwa, bakaseera okutuusa mu June, 2025 mu ttabamiruka w’ekibiina.

Wabula Kyagulanyi asabye Muwanga Kivumbi, akole ebiweesa ekibiina ekitiibwa n’okwewala ebyo, ebiyinza okubaswaza.