Ekitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) enkya ya leero, kigenda kufulumya ebigezo by’abayizi, abatuula ekibiina eky’omusanvu (P7) ebigezo bya Primary Leaving Examination (PLE) omwaka oguwedde ogwa 2024.

Mu ggwanga lyonna, abayizi abatuula bali 798,771 nga kuliko abalenzi 379,414 ate abawala 419,357.

Abaana abaliko obulemu, baali 3,295 nga kuliko abawala 1,677.

UNEB egamba nti yasobodde okweyambisa abasomesa 7500, okumakinga ebigezo by’abayizi mu Centres 13.

Ku bayizi bonna abatuula kuliko abasibe 323 nga batuulira makkomera okuli Kitalya, Luzira, Nakasongola, Masindi, Jinja, Arua, Gulu, Lira, Soroti, Mbale, Moroto n’awalala.

Ebigezo bya PLE, bigenda fulumizibwa, Minisita w’ebyenjigiriza era kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino Kataaha Musevenihttps://www.youtube.com/watch?v=FN4XBvLX0zo