Poliisi mu ggwanga erya Kenya ekutte omuvubuka ku misango gy’okutta muganzi we, myaka 19.

Poliisi ebadde mu kulawuna obudde bw’ekiro, ekutte omuvubuka John Kiama Wambua myaka 29 mu bitundu bye Huruma okumpi n’ekibuga Nairobi n’omulambo gw’omuntu.

Omukwate John Kiama Wambua

Omulambo gubadde guteekeddwa mu kisawo nga gwonna gutemeddwa amagulu, emikono, omutwe n’ebitundu ebirala.

Omukwate Wambua bw’abadde awa sitetimenti ku Poliisi, agambye nti omulambo gwa muganzi we Joy Fridah Munani.

Abadde atwala omulambo ku nsiko

Poliisi mu kwekebejja amakaage, bazudde akambe okuli omusaayi, engoye ssaako n’ebintu by’omubiri ebirala wansi w’ekitanda.

Okusinzira ku kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Directorate of Criminal Investigations (DCI), omusajja Wambua aguddwako emisango gy’obutemu essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti.

Mu ggwanga erya Kenya, ebikolwa eby’okutta abantu n’okusingira ddala abakyala, byeyongedde. Wakati wa August ne October, 2024 abakyala 97 battibwa, okusinzira ku kitongole kya Poliisi ekya Kenya’s National Police Service – https://www.youtube.com/watch?v=FN4XBvLX0zo