Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abantu 83 abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze mu Kampala wakati.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate baludde nga batigomya abatuuze mu kubba amassimu, okunyakula ensawo z’abakyala n’okulumya abantu ab’enjawulo.
Ebikwekweeto bikoleddwa mu bitundu omuli Clock Tower, Good Shade, Cooper Complex n’ebitundu ebirala era abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.
Ate ku Northern Bypass ne Lubigi, Poliisi yakutte abantu basatu (3) omuli Richard Niyonzima myaka 28, David Kiiza David myaka 42 ne Ali Ngobi myaka 21.
Ku Poliisi Niyonzima, agamba nti wadde baludde nga benyigira mu kubba, tewali muntu yenna alumiziddwa.
Onyango agamba nti ebikwekweeto by’okunoonya ababbi bonna mu Kampala, kukyagenda mu maaso – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=8s