Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku ngeri mukyala wa Julius Wandera Maganda gye yafiiridde mu kabenje.
Omukyala Florence Taaka, abadde mukunzi mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM) era yatomeddwa ku kyalo Kitukutwe ku luguudo lwe Kiwologoma-Nakwero mu ggoombolola y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso akawungeezi ka Ssande.
Kinnajukirwa nti Maganda, yaliko Minisita omubeezi ow’ensonga z’amawanga mu East Africa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebiduuka Micheal Kananura, akabenje kabaddemu emmotoka 2 okuli UAX 937P (Toyota Premio) ne UAM 516B (Toyota Harrier).
Okunoonyereza kulaga nti Toyota Harrier yabadde epakinze ebbali w’ekkubo era ddereeva yabadde afulumye emmotoka okuteeka emmere mu bbuutu gye yabadde aguze ebbali w’ekkubo mu katale.
Wabula emmotoka endala Toyota Premio nga yabadde edda ku ludda lwe lumu ne Toyota Harrier, ddereeva emmotoka yamulemeredde, kwe kuyingirira Toyota Harrier era omukyala Taaka, emmotoka yamunyigidde ku mmotoka ye, okutuusa lwe yafudde.
Omusirikale Police Constable Wilber Nuwagaba yeyabadde avuga Toyota Premio ng’ali n’omusirikale omulala Assistant Superintedent of Police Achilles Atwebembere, bonna okuva ku Poliisi y’e Kira.
Bba Maganda eyaliko omubaka wa Samia Bugwe mu Palamenti yabadde mu mmotoka era yazirise oluvanyuma lw’okulaba mukyala we ng’afiiridde mu kabenje.
Omugenzi Taaka abadde mukyala mulimi omuli emwanyi, mulunzi omuli enkoko, ente n’ebirala.
Poliisi egamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso, okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.