Abasajja 5 basindikiddwa okuttibwa nga batugibwa mu ggwanga erya Nigeria mu ssaza lye Kano oluvanyuma lw’okutta omukyala mu 2023 nga bamulumirizza okuba omusawo w’ekinnansi ate omulogo.
Omukyala Dahare Abubakar myaka 67 yattibwa ng’ali ku ffaamu nga yakubwa oluvanyuma ne bamufumita ebiso okutuusa lwe yafa.
Famire y’omukyala Dahare yaddukira ku Poliisi era mu kunoonyereza, Poliisi yakwata abasajja bonna mu bitundu bye Kano.
Bannansi bonna mu ggwanga bavaayo nga bagamba nti abantu bangi ku byalo battiddwa olw’okuteeberezebwa okwenyigira mu busawo bw’ekinnansi.
Mu kkooti, omulamuzi Usman Na’abba yategezezza nti kkooti yafunye obujjulizi bwonna, obulaga nti abakwate benyigira mu kutta omugenzi.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Abba Sorondiki, lugamba nti ekibonerezo kigenda kuyambako okutangira abantu okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.
Okunoonyereza kulaga nti mukyala w’omusibe Abdulaziz Yahaya eyali omulwadde, yaloota nga Dahare amugoba ng’akutte akambe, ekyavaako Yahaya okufuna banne okulumba okutta Dahare mu bukambwe.
Mu Nigeria, ebikolwa eby’okutta abantu bizze byeyongera nga kigambibwa benyigira mu bikolwa ebya kalogo kalenzi – https://www.youtube.com/watch?v=dXEyVEkEnnc