Poliisi ekoze ekikwekweeto mu kiro mwekwatidde abavubuka abali 20 abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze b’e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso ku luguudo lwe Hoima.
Kigambibwa abamu ku bakwate, benyigidde mu kumenya emmotoka y’omuddumizi wa Poliisi e Kakiri Hassan Mugerwa ne batwala essimu.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2025/02/arrr.jpg)
Poliisi egamba nti yasobodde okweyambisa kamera okuzuula ababbi nga badda mu bitundu bye Namayumba, Wakiso.
Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde ebintu eby’enjawulo ebigambibwa okuba ebibbe ssaako n’ensawo z’enjaga.
Abakwate essaawa yonna bagenda kutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okusunsulwamu – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=7s
Ebifaananyi, Daily Monitor