Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awanjagidde abatuuze b’e Kawempe North, okuwagira NUP, okulonda Erias Luyimbazi Nalukoola nga 13, March, 2025.
Olunnaku olw’eggulo ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule, akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NUP nga bakulembeddwamu Mercy Walukamba, balangiridde Nalukoola ng’omuwanguzi, alina okulemberamu ekibiina.
Mu ntekateeka zonna ez’ekibiina okunoonya omuntu omutuufu omuli n’okukubaganya ebirowoozo
Nalukoola yafunye obubonero 71.4 ku 100
Magala Umar – 52.8 ku 100
Luwemba Muhammad Luswa, eyali omuyambi w’omugenzi Muhammad Ssegirinya – 35.9 ku 100
Ssenkungu Kenneth – 25.5 ku 100
Salim Sserunkuuma – 23.58 ku 100
Rubagumya Charles – 23.36 ku 100
Mulumba Mathias – 23.19 ku 100
Kulya Saul Zziwa – 20.11 ku 100
Nsereko Moses – 14.26 ku 100
Fredrick Kakiika – 8.98 ku 100

Nalukoola n’abamu kw’abo abaludde nga begwanyiza kaadi

Oluvanyuma lw’okulangirira Nalukoola, Bobi Wine yasabye bannakibiina bonna, okuvaayo mu bungi okuwagira omuntu waabwe.
Ate Nalukoola naye yasuubiza okukola kyonna ekisoboka, obutaswaza kibiina ki NUP n’okukola ku nsonga za balonzi b’e Kawempe North singa akwasibwa obuyinza nga 13, March, 2025.

Embeera eyabadde ku kitebe


Erias Luyimbazi Nalukoola yazaalibwa mu 1982 mu Kirokolo zzooni, Kawempe 1, era yasomera masomero ag’enjawulo okutuusa lwe yatuula P7 ku Kawempe Moslem Primary School mu 1994.
S4 yagikolera ku Nile SS ate S6 yagituula ku Kawempe Moslem mu 2005 era y’omu ku bayizi abaakola obulungi.
Ku Yunivasite e Makerere, yakola mateeka.
Mu bukulembeze bwe, yaliko Kansala w’abavubuka e Kawempe era yalondebwa okumyuka sipiika we Kawempe, yaliko ssentebe w’abavubuka e Kawempe.
Mu 2010, yatikkirwa amateeka ku Yunivasite e Makerere.

Nalukoola, musajja wa Kyagulanyi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DXk0o_3a7JY