Eyali omuyambi w’omugenzi Muhammad Ssegirinya, Muhammad Luswa Luwemba agyemedde ekiragiro kye kibiina ki National Unity Platform (NUP), bw’alangiridde okwesimbawo mu kulonda kwa Kawempe North nga Yindipendenti.
Luwemba, alangiridde okweyambisa akabonero k’e ssaawa, okulaga bannakawempe nti ye ssaawa, okulwanyisa abalemeddeko okutunda Kawempe.
Olunnaku olw’eggulo, yakedde kulambula ebitundu bye Kawempe North eby’enjawulo, okwebuuza ku balonzi era bagamba nti Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu, yakola nsobi, okuleeta munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola, mu kulonda kwe Kawempe North.
Luwemba agamba nti abantu b’e Kawempe North betaaga omuntu nga ye, kuba ategeera bulungi ensonga zonna eziruma abatuuze nga Nalukoola wadde musajja muyivu nnyo, tategeera nsonga z’abatuuze.
Alemeddeko, agamba nti NUP okugaana okumukwasa kaadi, agenda kwesimbawo nga talina kibiina kyonna kuba Kawempe tetundwa.
Luwemba mu ngeri y’emu alabudde abatuuze b’e Kawempe ku bigambo ebiri mu kutambula nti okwesimbawo nga talina kibiina, awagiddwa sipiika wa Palamenti Anita Among, eyali omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba n’abalala.
Agamba ebigambo ebyo, bigendereddwamu okuggya abantu ku mulamwa.
Mu kwebuuza ku balonzi, abamu bagamba nti Luwemba ebbanga ly’amazze n’omugenzi Ssegirinya, ategeera bulungi ensonga ezinyiga abatuuze.
Abatuuze abamu bagamba NUP erina obuyinza bwa kaadi, bbo bebalina akalulu.
Nga 13, March, 2025, abalonzi b’e Kawempe lwe bagenda okulonda era NRM yaleese Faridah Nambi, FDC erina Sadat Mukiibi amanyikiddwa ng’omuyimbi Kalifah Aganaga n’abalala abasuubirwa okuvaayo okulangirira mu lwatu – https://www.youtube.com/watch?v=y_NMMFgjy2Y&t=2s