Kyaddaki Dr Kizza Besigye asimbiddwa mu kkooti esookerwako e Nakawa, mu maaso g’omulamuzi Esther Nyadoi wakati mu byokwerinda ne bagulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe.

Besigye asiimbiddwa mu kkooti ne

2 – Hajji Obeid Lutale myaka 65, omutuuze we Mutundwe, Makindye Ssabagabo, Wakiso.

3 – Munnamaggye Capt Dennis Oola myaka 48

Oludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Lino Anguzu lugamba nti emisango gy’okulya mu nsi olukwe, baagiza wakati wa 2023 ne November, 2024 mu bitundu by’ensi eby’enjawulo omuli

Geneva mu Switzerland

Athens mu Greece

Nairobi mu Kenya

Kampala mu Uganda

Nga batekateeka okweyambisa eryannyi, okukyusa obuyinza mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, munnamateeka wa Dr Kizza Besigye ne Lutale, omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, asabye omulamuzi okulowooza ku bulamu bwa Besigye, asobole okufuna obujanjabi.

Lukwago, agamba nti Gavumenti, yetaaga Besigye nga mulamu bw’aba yazza emisango avunaanibwe okusinga okulinda okufiira mu kkomera.

Wabula oludda oluwaabi, lugamba nti olw’ekika ky’omusango, omulamuzi alina okufuna okuwabulwa, oba ddala abasawo b’e Luzira balemeddwa okumujanjaba, okusinga okusaba nti ayimbulwe.

Omulamuzi mukuwa ensala ye, agambye nti tasobola kulagira kintu kyonna kuba kkooti  ye, terina buyinza, nga balina kuddukira mu kkooti enkulu.

Bonna 3 okuli Besigye, Lutale ne Capt Dennis Oola abadde ku limanda mu kkomera ly’amaggye e Makindye, basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7, March, 2025, okuwa akadde oludda oluwaabi, okufundikira okunoonyereza – https://www.youtube.com/watch?v=tUXMtau7po8