Abamu ku basawo mu ggwanga, basabye Gavumenti okulowooza ku ky’okusibira Dr Kizza Besigye makaage, gy’ayinza okufunira obujanjabi, okusinga okunafuyira mu kkomera e Luzira.
Bano, bagamba nti Besigye bwe yabadde aleeteddwa mu kkooti e Nakawa, gye yaguliddwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe wiiki ewedde ku Lwokutaano, yabadde mu kagaali, ekiraga nti ayongedde okunafuwa.

Abasawo bano, nga bakulembeddwamu Dr. Henry Ssekyanzi, bagamba nti wadde Besigye yakkiriza okuddamu okulya emmere, tekimala kuba yetaaga bingi omuli okubeera ne famire ye.
Mungeri y’emu, bawandiise ekiwandiko ekigenda okusindikibwa mu offiisi ez’enjawulo omuli offiisi
– Y’omukulembeze w’eggwanga
– Sipiika wa Palamenti n’endala, okulaga obulabe obwolekedde ku ludda lwa Besigye ng’ali mu kkomera.

Wiiki ewedde ku Lwokutaano, Dr Kizza Besigye yasimbiddwa mu kkooti esookerwako e Nakawa, mu maaso g’omulamuzi Esther Nyadoi wakati mu byokwerinda ne bagulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe.
Besigye avunaanibwa ne
2 – Hajji Obeid Lutale myaka 65, omutuuze we Mutundwe, Makindye Ssabagabo, Wakiso.
3 – Munnamaggye Capt Dennis Oola myaka 48
Oludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Lino Anguzu lugamba nti emisango gy’okulya mu nsi olukwe, baagiza wakati wa 2023 ne November, 2024 mu bitundu by’ensi eby’enjawulo omuli
– Geneva mu Switzerland
– Athens mu Greece
– Nairobi mu Kenya
– Kampala mu Uganda, nga batekateeka okweyambisa eryannyi, okukyusa obuyinza mu ngeri emenya amateeka – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y
Besigye abasawo kiwedde