Poliisi e Bukomansimbi ekutte omuvubuka ow’emyaka 22 ku misango gy’okutemako kitaawe omutwe oluvanyuma lw’okukaayanira Pikipiki.
Omuvubuka Rogers Lukyamuzi nga mutuuze ku kyalo Kitemi mu ggoombolola y’e Bukango e Bukomansimbi yakwatiddwa ku by’okutta kitaawe Remegio Kasibante.
Lukyamuzi akidde kitaawe Kasibante n’amutemako omutwe , oluvanyuma lw’okumunenyaako nga alwisizaayo Pikipiki ye gye yabadde amwazise okutambulirako.
Abatuuze bagamba nti Lukyamuzi ne kitaawe baludde nga balina obutakaanya era abadde yasuubiza dda okutta kitaawe.
Wabula akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango e Bukomansimbi, Betty Akirini agamba nti kiswaza, omwana okutta kitaawe, ate nga yali yalabula dda.
Akirini agamba nti ekirungi Lukyamuzi ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okutta omuntu wabula kikyamu omuntu yenna agambibwa nti alina obuzibu ku mutwe, okwogera ekigambo, abatuuze ne bakitwala nga kyakusaaga – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y