Poliisi y’e Kajjansi etandiise okunoonyereza ku nfa y’omuzannyi wa Vipers, Abubakar Lawal.
Abubakar Lawal, abadde munnansi wa Nigeria.
Yagudde wansi okuva ku mwaliiro ogw’okusatu ku Voicemall Shopping Arcade olunnaku olw’eggulo.
Okunoonyereza kulaga nti yatuuse ku Mall enkya ng’ali mu mmotoka namba UBQ 695G okulaba ku mukwano gwe omukyala Omary Naima, munnansi wa Tanzania mu ‘room’ namba 416.
Mukwano gwe agamba nti, Lawal yamulese mu nnyumba ng’afumba caayi okugenda ku ‘Game Center’ ku kizimbe kyenyini.
Wabula ku ssaawa 8 ez’okumakya, Lawal yagudde okuva ku mwaliiro ogwokusatu (3) paka ku ttaka.
Yaddusiddwa mu ddwaaliro e Ntebe kyokka ne bategeezebwa nti abadde yafudde dda.
Mu nsawo y’omugenzi mwasangiddwamu
– Amassimu ga Smart Phone 2
– Charger
Poliisi egamba nti mu kiseera kino, bali mu kweyambisa kkamera eziri mu kifo, okuzuula ebisingawo.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti tewali kubusabuusa kwonna balina okuzuula ekyavuddeko Lawal okufa.
Omary Naima, muganzi wa Mbwana Ally Samatta, omusambi w’akapiira mu ggwanga erya Tanzania.
Kigambibwa abadde alina enkolagana ey’enjawulo n’omugenzi.
Omukyala Naima, abadde yapangisa ku kifo ekyo, okuva nga 20, February, 2024 – https://www.youtube.com/watch?v=aQWnUiuL2d8