Abantu 5 bafiiridde mu akabenje k’emmotoka akabaddewo mu kiro ekikeeseza olwaleero ate abantu 21 babuseewo n’ebisago ebyamaanyi mu kitundu ekimanyiddwa nga Mayanja ku luguudo lwe Kampala – Bombo.

Akabenje kabaddemu emmotoka 9 omuli Takisi ssaako ne Pikipiki emu.

Emmotoka kuliko UBQ 745N T/Noah, UAY 704B T/Hiace, UAT 652K T/Hiace, UBK 769 A Fuso Super Grande, UBD 829G T/Hiace, UAL 333C T/Corolla, UAV 026F T/Hiace, UBQ 062B T/Sienta, UBD 483N T/Hiace) ne Pikipiki (UES 773K Yamaha).

Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga SP Kananura Michael, agamba nti akabenje kavudde ku mmotoka UBK 769A Fuso Super Grande ebadde eva e Kampala okudda e Bombo okugaana okusiba, kwekuyingirira emmotoka endala ne Pikipiki.

Abafudde kuliko 4 abasangiddwa mu mmotoka n’omulala omu, abadde ku Pikipiki.

Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa ssaako n’abantu bonna abafunye ebisago ate emmotoka zitwaliddwa ku Poliisi y’e Kawempe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lOpORLevgy0