Poliisi y’e Kira ekoze ekikwekweeto mu bitundu bye Kamwokya ne Kyebando ne bakwata abantu abasukka 20.
Abakwatiddwa, kigambibwa bebamu kwabo, abaludde nga batigomya abatuuze omuli n’okumenya amayumba obudde bw’ekiro n’okuteega abantu mu kkubo ne batwala ebintu byabwe.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abatuuze baludde nga batwala alipoota ku Poliisi olw’ababbi okubba ebintu byabwe omuli ssente, amassimu, ebiwandiiko, ensawo z’abakyala n’ebirala n’okusingira ddala kumakya nga bagenda ku mirimu ssaako n’akawungeezi nga banyuse.


Onyango agamba nti mu kikwekweeto, abakwate basangiddwa n’enjaga era essaawa yonna, bagenda kutwalibwa mu kkooti.
Ku lwa Poliisi, Onyango agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okukwata abantu bonna abatigomya abantu mu bitundu – https://www.youtube.com/watch?v=UwcIbNiKqWs