Poliisi y’e Buyende ekutte omusajja myaka 23 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 17.

Mugeere Wycliff, nga mutuuze ku kyalo Namalogwe mu ggoombolola y’e Irundu, yakwatiddwa wamu ne taata w’omwana Mutaka Moses, era ssentebe w’ekyalo Bukyaala mu ggoombolola y’e Irundu.

Okwatibwa, kidiridde vidiyo okutambula ku mikutu migatta abantu, nga taata Mutaka afumbiza muwala we omuto, eri omusajja Mugeere era nga emikolo gyakolebwa nga 2, March, 2025.

Okuva ku lunnaku olwo, omusajja Mugeere abadde asula n’omwana nga amutwala nga mukyala we, nga n’okunoonya omwana waabwe ayinza okusooka wakati waabwe, kwatandiddewo.

Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu Busoga North, agamba nti bano bakwatiddwa, ng’omusajja aguddwako egy’okusobya ku mwana ate taata egy’okufumbiza omwana omuto.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y