Poliisi y’e Kira ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abavubuka abawerako mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Ekikwekweeto, kitandiise ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, ekikeeseza olwaeero mu bitundu bye

Namugongo

Jjanda,

Kapeera ne  Kira taxi park ghetto.

Mu kikwekweeto, 44 bakwatiddwa era basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli emisokoto gy’enjaga.

Mu kiseera kino bali wali ku Poliisi y’e Kira nga Poliisi bwefundikira okunoonyereza.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti baludde nga bafuna amawulire okuva mu batuuze nti obumenyi bw’amateeka omuli obubbi, busukkiridde mu byalo.

Onyango agamba nti ebikwekweeto, bikyagenda mu maaso.

Ebifa mu ggwanga ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=htklMieuNhE