Omusuubuzi w’omu Kampala akubiddwa ennyondo ku mutwe

Abatuuze mu bitundu bye Masajja, Ssabagabo-Makindye, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuvaayo ku nsonga y’ebyokwerinda, okubataasa ku babbi n’abatemu, abeyongedde obungi mu kitundu.

Abatuuze bagamba nti mu wiiki 3 abantu 4 battiddwa, nga akyasembeyo ye musuubuzi Ssengooba Charles, eyattiddwa, akawungeeezi k’olunnaku olwa Mmande nga yakubiddwa ennyondo 2 ku mutwe.

Ekifo omugagga Ssengooba webamutidde

Omusuubuzi Ssengooba,  abadde alina abaana basatu (3) era abadde musuubuzi mu bitundu bye Masajja nga mutuuze mu bitundu bye Kisangani.

Abatuuze bagamba nti abatemu n’ababbi, beyongedde nnyo mu zzooni y’e Kisangani, nga batigomya abantu ebbanga lyonna.

Bagamba nti ababbi n’abatemu batiisa abantu okutambula n’okusingira ddala abasuubuzi ebbanga lyonna.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya abatemu, abasse Ssengooba okuwa abatuuze essuubi – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=10s