Poliisi y’e Kitagwenda ekutte Levi Amara-Kutunga amanyikiddwa nga DJ Levi era nga muyimbi, olw’abatuuze okumulumiriza nti yandibanga yeenyigidde mu lukwe lw’okutta omwana wa muganda we myaka 4 ku kyalo Nyaruhanda.

DJ Levi, Kansala akiikirira abantu abaliko obulemu.

Omwana yabula ku Ssande nga 16, March, 2025 bwe yali atumiddwa ewaneyiba kyokka nazuulibwa enkera ku Mmande nga 17, March, 2025, mu nsiko ng’attiddwa.

Amaka ga Levi

Poliisi okuleeta embwa, yatambudde paka ku nju ya Levi, mita nga 300, okuva omulambo weyasangiddwa.

Mu kwekebejja ekifo, wazuuliddwawo ejjambiya okuli omusaayi, mita nga 200, okuva ku mulambo.

Omwana eyatiddwa

Mu kwongera okwekebejja enju ya Levi eyabadde okumpi n’omulambo, Poliisi kwekuzuula baketi omuli engoye okuli omusaayi nga n’ebisenge, nga kuliko amatondo g’omusaayi.

Olw’embeera kati abatuuze bakoonye enju Levi era Poliisi yesobodde okugitaasa, okusaawa emmere ssaako n’okutemateema ente.

Mu kiseera kino, wadde ente ziraba, abazikozeeko effujjo, olw’embeera gye zirimu, zikaaba bukaabi.

Bbo abatuuze, bakyali banyivu nnyo.