Kkooti ya Buganda Road, eragidde Poliisi y’ensi yonna, banoonye era bakwate Pulezidenti w’ekibiina ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde.

Ssemakadde ali ku misango gy’okutyoboola ekitiibwa kya Ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Francis Abodo ng’ayita ku mutimbagano, Laadiyo ne TV wabula mu kiseera kino, tamanyikiddwako gy’ali nga kigambibwa, yaddukira mu nsi z’ebweru.

Kati mu kkooti enkya ya leero, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Ronald Kayizzi, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Tonny Tumukunde ne Joshua Byamazima basabye kkooti, okuyisa ekibaluwa ki bakuntumye ekikwata Ssemakadde, kuba yadduka dda mu ggwanga.

Omulamuzi Kayizzi akkiriza n’okusaba kwabwe era bwatyo, alagidde Poliisi y’ensi yonna, bamunoonye akwatibwe – https://www.youtube.com/watch?v=UjBNO1PqyMw&t=8s