Abasawo ku ddwaaliro e Mulago erya Kkansa, balabudde abakyala okukomya okulowooza nti omusajja yenna okuyonka amabeere gaabwe, kiyinza okuyamba okutangira kkansa w’amabeere.
Okusinzira ku Christine Namulindwa, omwogezi wa Uganda Cancer Institute, agamba nti tewali kunoonyereza kwonna kulaga nti omusajja okuyonka amabeere, kiyinza okuyamba omukyala ku nsonga y’obulwadde bwa Kkansa.

Christine Namulindwa

Namulindwa awanjagidde abakyala okwettanira amalwaliro okwekebeza kkansa w’amabeere kuba mu ggwanga yeyongedde ssaako ne Kkansa wa nnabaana.

OBULWADDE BWA KKANSA MU UGANDA

2024Alipoota y’omwaka  
Abalwadde abapya36,000  
Ku balwadde abapya 36,0007,945 bebali ku bujanjabi e Mulago  
 1,400 mu ddwaaliro e Mbarara  
Abalwadde abatali ku ddagala26,655  
Amalwaliro ga Kkansa mu UgandaMulago Mbarara,   Arua,  Gulu Mbale  
Obujanjabi obw’eddagala N’okulongoosaMbarara Arua,  Gulu,   Mbale  
Obujanjabi obw’eddagala, okulongoosa n’okaliriraMulago
  Buli lunnaku, abalwadde abafuna obujanjabi ne baddayo awaka  450
Nga Uganda Cancer Institute, balina ebitanda  140
AbakyalaKkansa wa Nnabaana n’amabeere
AbasajjaProstate